OKULWANYISA COVID-19: Ab'e Wakiso basisinkanye okulaba webatuuse
Akakiiko akakola kukulwanyisa okusaasanya n'okugema ekirwadde ki COVID - 19 e Wakiso basisinkanye okukubaganya ebiriwoozo ku wa webatuuse mu kulwanyisa ekirwadde kino.
Bano bategeeza nti bakoze ekisoboka okusomesa n'okugema abantu newankubadde nga basanze okusomozebwa ku ddagala etono eribaweebwa ate nga abantu abetaaga okugemebwa abangi.
Ye RDC w’e Wakiso era nga yakulira akakiiko kano abakubirizza okusigala nga bakola ogwabwe ebisigadde babirekere gavumenti.