OKULUNGAMYA ENGEREKA Y'OMUSOLO : KCCA etongozza kkooti okukola ku kw'emulugunya
Ekitongole ki KCCA kitongoza kooti egenda okugonjoola ensonga z'abantu abalina okwemulugunya ku misolo egibagerekerwa.
Okusinziira kubano, abantu babadde basanga okusoomozebwa ku nsonga y'emisolo bangi nebatya okwekubira enduulu nebasalawo kyakugyebalama.
Batubuulidde nti enteekateeka eno yakwongera okwagazisa abantu okusasula omusolo kibasobozese nabo okubawa obuweereza obulungi.