Okulonda e Namayumba kusaziddwamu, obuzibu buvudde ku nsobi eri ku kakonge k'okulonda
Okulonda ba ssentebe begombolola y’e Namayumba ku mu disitulikiti y’e Wakiso kusaziddwamu omulundi ogw'okubiri oluvanyuma lw’akakonge akalondebwako okubaako ensobi. Obuzibu buvudde ku munna NUP ate okuteekebwako ekibiina ki NRM. Bbo aba NRM babadde basazeewo okulonda kugende mu maaso bbo aba NUP nebakalambira okutuusa okulonda lwekuyimiriziddwa.