OKULAMAGA E NAMUGONGO: Abatuliki bekyetaaga obukadde 300
Essaza ly’e Fort portal erikulembeddemu entekateeka z’okulamaga kw’omwaka guno ku kiggwa kya bakatolika, litutegeezeza nga bwe liriko we lituuse mu kuweefube w’okutegeka omukolo guno mu ngeri eweesa ekitiibwa.
Batubuulidde nti ku kawumbi akalamba kebabade banoonya baakafunako obukadde 700, kale nga babuzaayo obukadde 300 zokka.
Bakyayita abazira kisa okubaduukirira ne nsimbi.