OKUKUZA OLUNAKU LW'ABAKYALA B'OMUKYALO: Gav't yeyamye okubongera ssente z'okwekulaakulanya
Gavumenti esuubizza okwongera ku ssente eziweebwa abakyala okwekulaakulanya maddala mu byalo. Okusinzira ku minisita omubeezi ow’ekikula ky’abantu abakyala bakola kinene ku nkulaakulana y’eggwanga wabula basomoozebwa nyo bwekituuka mu byenfuna. Bino byogeddwa mu nteekateeka y’okujjaguza olunaku lw’abakyala b’omubyalo.