Okukuuma obutonde bw'ensi: Abakulembeze e Mpigi batandise okusimba ebibira
Abakulembeze e Mpigi baagala gavumenti ewe gavumenti ez'ebitundu obuyinza okukuuma ebibira byayo ebiggye mu mikono gy'ekitongole ky’ebibira ki National Forest Authority [NFA] kyebalumiriza obutakola mulimu gwakyo gw’okubikuuma.Ssentebe wa disitulikiti y’e Mpigi Martin Ssejjemba atandise kaweefube ow'okusimba ekibira mu buli ggombolola kyatumye "Governor's Forest" nga ettaka liweebwayo abantu ssekinnoomu.Kaweefube alimu n'okunnyikiza enjiri y'okusimba emiti mu maka nga baana b'amasomero bebamukulembedde.