OKUDDUUKIRIRA ESSOMERO LYA BILAL PRIMARY SCHOOL : Abasiraamu batandise okusonda ensimbi
Abakulembeze ba basiramu bavuddeyo okulaba nga bakwatizako abayizi b’e ssomero lya Bilal Islamic p/s eryakute omuliro olunaku lwegulo. Bano nga bakulembeddwamu Suprem Mufti Muhammad Galabuzi kwosa n’abalala, batonzewo obukiiko obugenda okuyambako mukukung’aanya ssente kwosa n’ebintu ebikalo okuduukirira essomero lino. Mukiseera kino obukadde obuwerera ddala 20 bwebwakasondebwa.