OKUDDUKIRIRA ABAWALA ABAFUNYE EMBUTO: Ab'e Kira bagenda kuzimba ettendekero ly'e Mukono
Munisipaali y’e Kira etandise enteekateeka z’okuzimba ettendekero ly’e mikono n’esuubi ly’okuyamba abawala abafunye embuto mu muggalo. Bano gamba abaana bangi naddala abawala tebagenda kusobola kuddayo ku masomero n’olwekyo okubaleka awo batyo kwekusalawo okuzimba ettendekero ly’emikono gyabasobola okuyigira emirimu gy’omumitwe okusobola okwebezaawo.