OBUBENJE BUZZEEMU: E Mityana 3 bafudde, e Matugga 10 basimattuse
Abantu abasoba mu kumi batwaliddwa bataawa olw’akabenje akagudde e Matugga okuliraana Kampuni ya Bisquit eya Every Day takisi mwebabadde bwetomereganye ne Fuso.
Abadduukirize abakoze butaweera okuyambako poliisi okutema abantu mu takisi okusobola okubaddusa mu ddwaliro.
Ate e Mityana abantu basatu bonna nga banyumba emu bafiiridde mu kabenje akauguddewo kumakya ga leero. Emmotoka ekika kya Taxi ezakazibwako erya Drone bwetomereganye ne pikipiki era abagyibaddeko bonna nga banju emu tebasimattuse.