OBUBBI E MUKONO : Waliwo abantu poliisi beyasuuza ebibbe
Kooti ejjulirwamu ezzeemu okusindika ababaka Allan Ssewanyana ne munne Mohammed Ssegirinya ku alimanda okutuusa nga 29 omwezi oguno okuwa ensala ye oba nga ddala basaanye okweyimirirwa bawoze nga bava bweru. Omulamuzi wa kooti eno alagidde omuwaabi wa gav’t Richard Birivumbuka anyonyole lwaki akyayagala ababaka bano baleme kweyimirirwa nga baakamala emyezi mwenda mu ku alimanda.