Mwewale abefuula abaagala ennyo Kabaka–Katikkiro Mayiga
Katikkiro wa Buganda Charlse Peter Mayiga abuulidde abaami b’amagombolola nti tebagwana kuwudiisibwa bannakigwanyizi abefuula abaagala ennyo Kabaka, naye nga ekigendererwa ku muvvoola. Katikkiro gambye nti awuliza bulungi buli kifa ku kabaka e Namibia gyali, kale nga tebagwana kuwa budde muntu yenna eyefuula amanyi ebifa ku mutanda. Okwogera bino abadde asisinkanye abaami ba kabaka abamagombolola ku Muganzirwazza wano mu kampala.