MWETTANNIRE OKUSOMERA KU MUTIMBAGANO : Minisita Joyce Kaduchu akubirizza amasomero
Nga abayizi balindirira okudda ku masomero mumwezi gwa January omwaka ogujja, minisita omubeezi ow’eby’enjigiriza asabye bekikwatako bonna okwettanira ensomesa nga beeyambisa tekinologiya. Dr. Joyce Moriku Kaduchu okwogera bino abadde atongoza ebyumba bikalimagezi eby’eyambisibwa mu kusoma etuumiddwa “I can’t wait to learn Campaign” ku somero lya Maratatu pulayimale mu nkambi y’e Kyangwali.