Okukukusa abawala e Ssese: Eyagenda ng’omuggalo guwedde akyanoonya bw’avaayo
N’olwaleero tukyagenda mu maaso n’okutuusaako emboozi ez’abawala abakukusibwa ne batwalibwa mu bitundu by’e Ssese, nga basuubiziddwa emirimu gy’okukola mu wooteeri ne bakomekkereza nga batunda mu bbaala n’okukola nga ekisikiriza bannannyini bbaala kwe batundira omwenge n’okwetunda.Ow'olwaleero, ku mazzi yagendayo nga omuggalo gwa COVID19 gwakaggwaako naye anoonya bw’avaayo alemereddwa. PATRICK SSENYONDO k’atuwe emboozi eno.