Kinu health centre II: Waliwo abaagala lissummuusibwe okutuuka ku health centre IV
Abantu abawangaalira ku kyalo Bunamabugweri mu ggombolola y’e Namwedwa mu distulikiti ey’e Kamuli baagala gavumenti esuumuuse eddwaliro lyabwe Kinu Health II lyebeezimbira okudda ku mutendera ogwa Health Centre IV kiyambeko okutumbula ku by’obujjanjabi ebiri mu kitundu. Mu kiseera kino eddwaliro lino liri ku mutendera gwa Health Centre II ekibakaluubiriza okufuna obujjanjabi kubanga likola essawa ngere.