MWEBALE : Malik Bukenya akubye ku matu
Nga enaku z’omwezi 12 omwezi guno twakulaga omusajja Marik Bukenya omutuuze we Nabweru eyalwala ekirwadde ekyamusanyalaza omubiri gwaonna. Kyoka oluvanyuma lw’okulaga emboozi yye abantu ab’enjawulo baamudduukirira nga kati yatandise obujjanjabi era waliwo enkyukyuka.