Mutabani wa Nadduli afiridde mu nyumba
Jakana Suleiman Nadduli mutabani w’eyaliko Minisita atalina kifo kya nkalakalira era omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga za Buganda Al Hajji Abdul Nadduli afudde. Jakana afudde oluvanyuma lw’ebbanga lya mwezi gumu bukyanga ayimbulwa okuva mu kkomera.
Ono yali yakwatibwa omwezi oguwedde era naggalirwa ng’alangibwa okukozesa obubi komputa n’okwogera ebigambo ebisiga obukyayi n’okwawulayawula mu bantu. Wabula kigambibwa nti bweyakwatibwa ab’ebyokwerinda bamutulugunya, ekyayongera okusajjula obuvune bwakebenje keyafuna mu mwezi gw’okubiri omwaka guno.