MUSOME ENDAGAANO MUGYETEGEREZE: Minisita awadde abalimi b'emwanyi amagezi
Minisita omubeezi ow'ebyobulimi Rtd. Maj. Fred Kyakulaga Bwino agumizza abalimi b'emmwanyi mu bendobendo ly’e Masaka ku ndagaano eyakolebwa wakati wa Minisitule y’eby'ensimbi n’omukyala Enrica Pinetto owa kampuni eya Vinci Coffee Company Limited.
Kyoka wadde abalimi amagezi okusoma edagaano eno bagyetegereze singa balaba enayonoona ekirime kyabwe baddembe okugyiremesa. Minisita Kyakulaga asinzidde Masaka mukutongoza okugaba ebijimusa eby'omulembe eri abalimi b'emmwanyi mu disitulikiti mwenda ezikola Masaka.