Mu bulamu,omusawo awadde abambala obubina amagezi
Emirembe gyegikoma okukyuuka ne tekinologiya okukyuka nga kati omuntu asobola okufuna buli kyayagala kasita aba n’obusobozi. Mu ngeri y’okulabika obulungi, waliwo obubina obwayiyizibwa abangi ku bawala bwebettanidde ensangi zino. Wabula ate kizuuliddwa nga abambala obubina buno balina ekivundu kyebavaamu nga kigambibwa kiva kundabirira yabwe.