Mpuuga ayaniriziddwa e Masaka: Asabye bannabuddu okuba obumu
Omubaka wa Nyendo Mukungwe e Masaka era kamisona wa palamenti Mathias Mpuuga asabye bannabuddu okwewala abantu abayinza okwagala okubaawulayawula nga bayita mu byabufuzi.
Bino Mpuuga ababuulidde abantu b’e Lukaya bw'abadde ayogerako gyebali nga kyajje ayingira essaza ly’e Buddu.
Abasabye okumwegattako mu kitambiro kya misa ky'ategese okwebaza katonda olw'ebirungi byamukoledde bukyanga ayingira byabufuzi.