Ministule y'amayumba yakubangula bannayuganda
Bannayuganda bangi basula mu nyumba ezitatuukana na mutindo nga n’oluusi obuzibu obusinga buva ku nteeketeeka etali nnungi nga tebannazimba. Okusinziira ku minisitule y’eby’amayumba, ebibuga n’enkulaakulakana bali eyo mu bukadde bubiri mu emitwalo asatu. Kati bano basitukiddemu okulaba nga babangula abantu ku nyumba eyómulembe.