Minisita alabudde amasomero agatagoberera bisaanyizo byateekebwawo naddala ku masomero g’ebisulo
Gav’t yaakuggala amasomero gonna aganaasangibwa nga tegagoberera bisaanyizo byateekebwawo naddala ku masomero g’ebisulo okwewala emitawaana ng’omuliro ogukwata amasomero.
Bino byogeddwa minisita omubeezi ow’eby’enjigiriza ebisookerwako Joyce Moriku Kaducu bw’abadde agenze okulambula essomero lya Salama School for the deaf e Kisoga mu Mukono eryakutte omuliro mu kiro ekyakeesezza olwa leero ne mufiiramu abayizi 11.