Manya amateeka: Ozaayo otya ebintu by'oguze ku dduuka
Eri abantu abatera okugula ebintu ku maduuka naddala amanene- ka Receipt kebawebwa kaliko obubaka obukakasa nti singa ogula ekintu kino toyinza nate kukizaayo ng’ofunye okwemulugunya kwonna oba “Goods once sold not returnable”.
Kati leero mu Manya Amateeka Prisca Namulema ayogedde ne munnamateeka okumanya ddi obubaka buno lwe bulina okugobererwa.