Kyagulanyi alabudde anayingira NUP
Akulira ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu, alabudde bannabufuzi abaggya gyebali nga basaba kaada z’ekibiina okwesimbawo kyoka ng’ekigendererwa kwenoonyeza byabwe
Kyagulanyi agamba nti waliwo abafudde NUP ekkubo ly’okwenoonyeza ebyabwe, kyoka kuluno baakubakaliramu.
Bino kyagulanyi abyogedde ayaniriza abawagizi abavudde mu bibiina eby’enjawulo okwegatta ku NUP.