Katikkiro ayagala enkola ya bulungi bwansi efuuke ya buwaze
Katikkiro wa Buganda Charlse Peter Mayiga ayagala enkola ya Bulungibwansi efuulibwe ya buwaze mu ggwanga lyonna buli muntu yenyigire mu kuyonja ekitundu gy’awangalira mu kifo kyokulinda gavumenti. Katikkiro agamba nti mu nkola eno Buganda kuva dda nga mweyita okukuuma obuyonjo, kko nokukola emirimu egigasiza awamu ekitundu nga okukola enguudo kko nokuyonja ebibuga. Bino katikkiro abyogedde atongoza wiiki ya bulungiwansi, ekulembera olunaku lwa Bulungibwansi mu buganda olukuzibwa buli nga 8th omwezi ogwekkumi buli mwaka.