Gav't eriko enteekateeka gy'eyagala okuleeta okutumbula ebitone mu bavubuka
Abavunaanyizibwa ku bungi bw’abantu mu ggwanga basabye abakulembeze ku byalo ebakwatizeeko mu kukubiriza abavubuka okujjumbira enteekateeka zaayo ez’okwekulaakulanya.
Bagamba nti nawankubade gav’t eriko enteekateeka ez’enjawulo ezireteddwa okukulaakulanya bannayuganda, bavubuka banji bazesambye.
Minisita wa microfinance Haruna Kyeyune Kasolo agamba baakwagazisa abavubuka okukulaakulanya ebitone byabwe.