Enteekateeka zokukola oluguudo lwe Kasanje-Bussi ziwedde
Abatuuze abakozesa enguudo okuli olwa Kasanje - Bubebbere okutuuka e Bussi n’oluva e Buziina - Bussi okutuuka e Kasanje bafunye ku suubi bwe bakitegedde nti enguudo zino za kukolebwa .
Amawulire gano gababuuliddwa abakulembeze be Wakiso ababadde bagenze okwogerezeganya n'abatuuze bano okubakkirizisa okubawa ettaka bagaziye oluguudo luno.