Enteekateeka ya Greater Kampala, E Mpigi batandise nakuzimba nguudo
Disitulikiti y’e Mpigi etandise kaweefube w’okumatiza abantu okukkiriza okuwaayo ettaka lyabwe n’ebibanja ku bwereere okuyisaawo oluguudo olugenda okuzimbibwa banka y’ensi yonna mu nteekateeka ya Greater Kampala Metropolitan Area Urban Development Programme. Batandise na kutuukirira abagenda okumenyebwa enyumba zaabwe - abamu ku batuuze bagamba wadde enteekateeka eno nnungi naye obutaliyirirwa baba tebalina waakudda.