ENSI KULABA :Yasin Kakande yakubwa amasasi mu mukono (0740369815)
Yasin Kakande mutuuze w’e Gganda mu Wakiso anyumya bweyasimattuka amasasi oluvanyuma lw’omujaasi wa UPDF okuwandagaza amasasi mu bantu agaamutwaliramu negatta n’abantu abalala 4 omwaka oguwedde. Mukiseera kino ono baamuleka ebyuma mu mukuno nga kati talina wadde ekikumi ekimutwala mu ddwaliro okumujjamu ebyuma bino. Ono alumiriza UPDF okumulekurira nga tannaba ku wona.