ENSI KULABA :Martin yamala emyaka 6 ng'alowooza alina sirimu
Mu Nsi Kulaba leero tugenda kulaba emboozi ya Martin Kateregga ng’anyumya bweyamala emyaka 6 nga alowooza nti alina akawuka akaleeta mukenenya . Agamba yatuuka n’okufuna omutima omubi n’atandika kyeyayita okusiiga buli muwala amusala mu maaso. Ekyessanyu -oluvanyuma lw’e bbanga lino lyonna, yagenda okwekebeza nga talina kawuka.