Emyaka 30 egya omukama wa Bunyoro: Eggulo Omukama yeetabye mu kusaba e Hoima
Eggulo, Omukama wa Bunyoro Dr. Solomon Gafabusa Iguru alabiseeko mukusaba kw’okwebaza Katonda okw’emyaka asatu gyamazze ng’alamula Obukama.
Mukusaba okukulembeddwa omulabirizi w’obulabirizi bwa Bunyoro- Kitara, asabye abantu okukwatagana n’okusoosowaza obumu okusobola okukulaakulanya Obukama.
Olunaku lw’enkya, lwegyigenda okuwera emyaka asatu Dr. Solomon Gafabusa Iguru alamula Obukama.