EMIRIMU GYIZING'AMYE E WAKISO: Ba kansala abagenda mu musomo tebaddanga
Guweze omwezi mulamba Bukyanga bakansala ba disitulikiti y’e Wakiso bayitibwa mu musomo e Garuga newankubadde nga omusomo guno gwali gwakutwala wiiki bbiri zokka. Sipiika wa disitulikiti eno agamba nti kino kyakolebwa mu bukyamu nga tebamaze kwebuzibwako ekizingamiza enzirukanya y'emirimu gya disitulikiti. Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso Matia Lwanga Bwanika agamba nti kyeboolekedde kwekuwandiikira omuwandiisi w'enkalakalira mu minisitule ya gavumenti ez’ebitundu okubalanbika ku ky’okuzaako.