EKIRWADDE KI COVID-19: Eggwanga werituuse mu kukirwanyisa
Zaali 18 ogw’okusatu gwa 2020 Uganda n’erangirira omulwadde wa COVID-19 eyasooka.
Ono yali ava Dubai mu United Arab Emirates – amawulire gano gateeka bannansi ku bunkenke olw’ekirwadde kino ekyali kitamanyiddwa nzijanjaba yakyo mu kiseera ekyo.
Ekyaddako kwali kulabula bantu wamu n’okubasomesa engeri gyebayinza okugezaako okukyetangira – mu kino Presidenti Museveni yalangirira omuggalo mu ggwanga lyonna.
Katukujukize ebyaliwo ebiseera ebyo newetutuuse kati mukulwanyisa ekirwadde kino.