E Mutundwe abatuuze bakaaba lwa mazzi
Abatuuze b'e mutundwe Kabawo zoni bavude mu mbeera ne batabukira ba musiga nsimbi aba kampuni ya Road Master nga babalanga kuzimba ku mwala ekiviiriideko amazzi okwanjala mu mayumba gaabwe.
Okutabuka kidiride enkuuba eyatonye ekiro ekikeseza olunaku lw'egulo amazzi negayingira mu Mayumba gabwe.
Abatuuze nga bakulembedwamu omubaka w'a Lubaga South Aloysius Mukasa batudde mu lukiiko n'abayindi bano okusalira ekizibu kino amagezi.