E Masaka, abaana abazaarwa nga tebanatuuka beeyongedde
Abadukanya eddwaliro ekkulu ely’e Masaka balaze obwerariikirivu bwe bakizudde ng’omuwendo gw'abaana abazaalibwa nga tebatuuse gweyongera buli kadde. Abasawo bagamba nti kino kyandiba nga kyavudde ku bugumu eribadde eringi ensangi zino, erikosa ennyo embuto z’abakyala.