E Kawempe, abawangalira wansi wa waya z'amasanyalaze bakusengulwa
Abatuuze b’e Kawempe ku kyalo Triangle mu muluka gwa Mulago 2 abalinaanidde amasanyalaze n’abali wansi wa waya zaago baagala ab’ekitongole ekibunyisa amasanyalaze ki Uganda Electricity Transmission Company kibaliyirire bwekiba kyagala okubasengula. Bbo aba kampani eno bagamba baasasula dda abantu bano okwamuka ebitundu bino bbo kyebawakanya. Ab’ekitongole kino basisinkanye abakulembeze b’abatuuze bano okuteesa ku nsonga y’okubasengula.