E Kabalagala abasoba mu 400 bakuguse mu mirimu gy'omutwe
Minisita wa kampala Hajjat Minsa Kabanda munyiivu eri abavubuka baagamba nti basusse okwagala eby’amangu. Minisita agamba nti bafubye okulaba balwanyisa ebbula ly’emirimu mu bavubuka, naye abamu ebikozesebwa bye babawa ate babitunda. Okwogera bino minisita abadde Kabalagala ng’atongoza ekifo omugenda okukolerwa okunonyereza, kko n’okubangula abavubuka mu mirimu egy’emikono Youth Hub kabalagala.