E Jinja agambibwa okubba enkoko bamwokezza
Abatuuze ku kyalo Nakabango ekisangibwa mu Jinja North division olunaku lw’eggulo baavudde mu mbeera nebakakkana ku musajja ateeberezebwa okubba enkoko nebamwokya n’asirikka. Abatuuze bagamba bakooye obubbi ate abebakwata okubatwala ku poliisi n’akataayi tekasala nga batereedwa nabo kwekutwalira amateeka mu ngalo. Poliisi evumiridde ekikolwa kino.