Bannakyewa bagala abasajja bakole ku mirimu gy'awaka mu kaweefube w'okukendeeza obutabanguko mu maka
Kizuuliddwa ng’okugabana emirimu egyitasasulwa mu maka bwekiyambyeko mu kukendeeza obutabanguko mu maka. Okusinziira ku bannakyewa, obutabanguko mu maka businze kubalukawo mu maka omuli abakyala abakola nebalemwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’awaka. Ate bbo abayambibwako abaagalwa baabwe embeera eno ekendedde, ng’abaami nabo benyigira mukukola emirimu gy’awaka omuli okufumba, okwoza engoye, n’ebirala.