Bannakyewa baagala Gav't eyongeremu ensimbi mu kulwanirira eddembe ly'abakyala
Ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abakyala ebyeggatiira mu Forum for women in democracy, biwabudde gavumenti okwongera ensimbi mu kaweefube w’okulwanyisa ebikolwa eby’okutulugunya abakyala. Bagamba nti abakyala bangi bayita mu kuluma obujij, kino n’ekibalemesa okwenyigira mu mirimu egivaamu ensimbi. Okwogera bino babade mu kutongoza kaweefube w’okusonda ensimbi ezineyambisibwa mu kuzimba ekitebe ky’e bibiina by’abakyala ki- IMARA women’s centre