Banna NUP beyiye e Kiriwooza-Masaka okusabira eyali omukuumi wa Kyagulanyi
Olwaleero wanna NUP bakungaanidde ku kyalo Kirowooza e Mukungwe mu Masaka okusabira omwoyo gw’omugenzi Frank Ssenteza eyali omukuumi wa Robert Kyagulanyi eyatibwa mu Kampeyini z’obwa pulezidenti. Bano baweze nga bwebagenda okufuba okulaba nga batwala mu maaso ekyo ekyatisa Frank Ssenteza.