BANA AMASANNYALAZE GABASSE : Basatu b'e Busia, omu w'e Masaka
Abantu basatu amasannyalaze gabakubye nebafiirawo e Busia ate abalala mwenda nebaddusibwa mu ddwaliro nga bali mu mbeera mbi. Bano baabadde ku mupiira ku kisaawe kya Buchicha primary school kati bwebaagezezaako okukyusa weema webaabadde bagyitadde n’ekoona ku waya y’amasanyalaze okukakkana nga gabakubye. N’e Kyawuunye -Nabinene e Kabonera mu Masaka omuzeeyi abadde akedde okugenda okugenda okunoga emmwayi naye amasannyalaze gamusse.