Bakansala ku lukiiko lwa disitulikiti y’e Mubende bakubye ebituli mu lukiiko olwalondebwa
Bakansala ku lukiiko lwa disitulikiti y’e Mubende bakubye ebituli mu lukiiko olwalondebwa Ssentebe Michael Muhereza Ntambi okuyambako okudukanya emirimu gya disitulikiti eno. Bano bagamba tewali kyebasobola kukola ssentebe w’atali. Kino kidiridde sipiika wa disitulikiti okutegeeza olukiiko olutudde olwaleero nga Ssentebe bwatalabiseeko olw’ekimbe ekimubala embirizi nga yawandikidde sipiika ebbaluwa esaba okubaako ebijibwa ku lukangaga lw’ebigenda okuteesebwako luyite order paper byongerweyo mu lutuula oluddako.