Ba kansala abatuula ku lukiiko lwa KCCA baagala ekijjukizo ky’abantu abaziikibwa Kasasiro e Kiteezi
Ba kansala abatuula ku lukiiko lwa KCCA baagala gav’t eteekewo ekijjukizo ky’abantu abaziikibwa Kasasiro e Kiteezi nga n’abamu baabulirayo wansi. Bagamba mukiseera kino tewakyali suubi lyona nti balizuula emirambo gyabwe kabe akabonero akagala nti wano wewali ebisigalira byabwe. Bano olwaleero bagenzeeko e Kiteezi awagwa enjega eno, nga bagamba waliwo obugayaavu obwakolebwa.