Anderson Burora aziddwayo ku alimanda e Luzira
Anderson Burora eyali omumyuka wa RCC, mu division y’e Lubaga, aziddwayo ku alimanda e Luzira okutuuka olw’okutaano lw asabiiti eno, kkooti lwennaasala eggoye ku mpaaba y’oludda oluwaabi. Ba puliida ba Burora bagamba nti empaaba eno erimu ebirumira bingi, ono alangibwa kukozesa bubi mutimbagano nga akozesa omukutu gwe X okuyisaako obubaka obusiga obukyayi n’okuvumaganya sipiika wa palamenti Annet Anita Among.