Amazzi gasazeeko essomero e Kalungu
Abatwala eby’enjigiriza mu towuni kanso ye Lukaya mu disitulikiti ye Kalungu bawaliriziddwa okuggala essomero li Kamuwunga Primary school oluvanyuma lw’amazzi okulisalako. Mu kaseera kano abayizi abasoba mu 450 balagiddwa okudda ewaka ng’amazzi gano bwe gakakkana.