AMASASI NE TIYAGAASI E KYENGERA: Poliisi egobaganye ne ba kansala
Tiyagaasi n'amasasi binyoose e Kyengera mu Wakiso poliisi bwebadde egumbulula ba kansala ababadde batanudde okwekalakaasa nga entabwe evudde kubiteeso byebayisa nebitatekebwa mu nkola.
Gyebiggweredde nga bano babunye emiwabo era waliwo abakwatiddwa n'abalala balabiddwako nga beesogga ebisiriko okwetaasa