Akediimo k'abasubuuzi; e Kampala amaduuka mangi gasibye maggale
Amaduuka mu Kampala, kko n’ebibuga ebirara gasiibye maggale, ng’abasuubuzi bawakanya ekya gavumenti obutafaayo ku kukaaba kwabwe nga omusolo gubanyiga.
Bano basiibye batudde ku mbalaza z’amaduuka gaabwe, nga abawera nga bwebatajja kuggulawo okujjako nga bafunye okwenukulwa ku nsonga zaabwe. Byo ebyokwerinda bisiibye binywevu mu kibuga kyonna okwewala abayinza okwagala okutabangula emirembe.