Akakiiko ka Palamenti katandise okuwulira ensonga za Richard Lumu
Akakiiko ka Palamenti ak’amateeka ka Legal and parliamentary commission olwaleero lwekatandise okuwulira ensonga y’omubaka wa Mityana North gyagala ekyusibwe nga ababaka b’oludda oluvuganya bebalina okwerondera abakulira mu palamenti oba Leader of Opposition. Bwabadde alabiseeko mu kakiiko kano Lumu ategeezezza nga enkola ya dimokulasiya bweyisibwamu olugaayu naddala ku ludda oluvuganya, nga ayagala ensonga ze zitunulwemu.