ABAYIZI BASOMA N'EMBUTO : Batubulidde obuzibu bwe bayitamu
E Kumuli ku somero lya Kiige Primary school abawala bana baakomawo okusoma nga bali mbuto. Bano batubuulidde nti nga ogyeko bayizi banaabwe okubayeeya newaka gyebava babalaba nga ekizibu. Abasomesa batubuulidde nti bano bbo bakkiriza okudda okusoma naye waliwo abalala abagaana okukomawo nga batya okuswala. Kati basaba bazira kisa okubayamba okudduukirira abaana bano n’ebintu eby’enjawulo.