Abawagizi ba Amuriat bagudde ku kabenje
Patrick Oboi Amuriat ayimiriza okuwenja akalulu oluvanyuma lw’abantu be babiri ababadde batambulira mu emu ku mmotoka ze okufiira mu kabenje. Akabenje kano kabadde mu tawuni kanso y’e Panyamur esangibwa mu district y’e Pakwach. Emmotoka okutambulira emizindaalo eremeredde omugoba waayo negwa mu luwonko. Abantu abalala abasukka mu 10 bagendedde ku bisago ebyamaanyi.